Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 450 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi eyisizza ebiragiro ebikambwe ku banoonya obululu

November 18, 2020 · Mubiru Ali
Omuduumizi wa Uganda Police ForceIGP Matins Okoth Ochola avuddeyo nategeeza nti wadde nga babadde balabudde Bannabyabufuzi okukomya okumenya ebiragiro ebyateekebwawo akakiiko k’ebyokulonda nti babadde bagenda mu maaso n’okutegeka enkungaana ezimenya amateeka wamu n’okubeera n’oluseregedde lw’emotoka n’abantu abangi mu makubo gyebayita.
Ochola agamba nti bafunye amawulire nti bano baagala kukyakalanya nteekateeka zakulonda era nti kakubajuutuka abanamenya amateeka.
IGP Ochola agamba nti Poliisi evuddeyo n’enkola enkambwe okusobola okukuuma ekitiibwa ky’okulonga era nga asindise basajja be abakugu okunoonya abakulira enteekateeka zonna n’ababakulembera bakwatibwe bavunaanibwe.
IGP agamba nti balagidde abakulira Poliisi mu bitundu eby’enjawulo okussa ebiragiro mu nkola awatali kutya yadde okuttira omuntu yenna ku liiso.