Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 277 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

poliisi eyigga ba crime preventers ababbira mu byambalo byayo

February 15, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi e Katonga etandise omuyiggo gwa ba Crime preventer ababbira mu byambalo bya poliisi. Bano abaali bagiyambako okuziyiza obumenyi bw’amateeka wabula batandise okukozesa ebyambalo bya poliisi nga banyaga abantu ekiro nokubatulugunya.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Phillip Mukasa agamba nti baafunye amawulire nti waliwo ba Crime Preventer abakozesa ebyambalo bya poliisi ne batiisatiisa abantu olwo ne babanyagako ebyabwe n’okubatulugunya nga beeyita abaserikale ba poliisi.
Mukasa yagambye nti basinga mu kitundu ky’e Gombe mu Butambala nga bano baasooka kulemera byambalo bya poliisi era batandise okubayigga bakwatibwe.
“Ba Crime preventer tebakyali bakozi ba poliisi era ebyambalo bino byabaweebwa kuyambako poliisi mu kulonda okuwedde nga balina okubizzaayo mu bbanga lya myezi ebiri gyokka, kyokka abamu ne babiremera nga kati babikozesa okutiisatiisa abantu n’ebigendererwa by’okubabba era tutandise okubanoonya bakwatibwe tubavunaane emisango