Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 311 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

POLIISI EYAMBYE MU KUSAABAZA ABAYIZI

June 9, 2021 · Mubiru Ali
Uganda Police Force olunaku lw’eggulo akawungeezi yennyigidde mu kuyamba okusaabaza abayizi ababadde basiranidde mu ppaaka za bbaasi okubazza awaka ku bwereere. Abayizi abatwaliddwa bebava mu mambuka, obuvanjuba, amaserengete, obukiika kkono, obugwanjuba wamu ne Karamoja.
Bbaasi za Poliisi 6 wamu ne Loole 20 zezakozeseddwa okutambuza abayizi bano.
Poliisi egamba nti kati ziyambako okukomyaawo abayizi abalina okudda e Kampala okuva mu bitundu gyezatutte abayizi.
Poliisi era ejjukiza Bannayuganda nti ekiragiro ekikugira emotoka ez’olukale okutambula kitandika okukola nga 11-6-2021 era nekubiriza abantu okugondera ebiragiro byonna ebyateereddwawo.