Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 264 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi eyagala kuziikula Ssenteza okuzuula ekyamusse

December 28, 2020 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwesaze obuzibu okukola okunoonyereza okumala ku nfa y’omukuumi wa Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine, Ssenteza Kalibbala Francis oluvannyuma lwokuziikibwa mu bwangu postmortem.
Enanga agamba nti omulambo gwa Ssenteza gwagiddwa mu Ddwaliro e Rubaga ne ffoomu za postmortem eri ab’oluganda ne Bannakibiina kya National Unity Platform nga bakkaanyizza gutwalibwe e Mulago mu Ggwanika gwekehegyebwa wabula nti nabakyuusa ambulance nabigyolekeza e Kamwokya webakumye olumbe. Oluvannyuma bagututte mu maka ga bakadde be okuguziika.
Bayogedde naba famire okuli ne Major General Elly Kayanja, nebakiriza bagende bagwekebejjere e Masaka era abakugu okuva mu Poliisi nebakozesa namunkanga ya Poliisi okugendayo okukakasa ekyamuviiriddeko okufa nebisago. Enanga agamba nti wadde aba Famire bakirizza naye aba NUP ababadde abakambwe babalemesezza era nebamuziika nga tebakoze postmortem.
Enanga agamba nti bayubuddwa neneyisa y’abawagizi ba NUP ababalemesezza okukola omulimu gwabwe. Poliisi egamba bmnti etandise ku mulimu gwokufuna ekiragiro kya Kkooti okuziikula omulambo gwa Ssenteza gukolebweko postmortem okuzuula ekyamusse n’ebisago.