Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 287 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi eweze okutunda enkumbi, ejjambiya n’ebirala ku nguudo

February 21, 2022 · Mubiru Ali
Ebitongole byebyokwerinda bivuddeyo nebiwera okutunda wamu n’okutembeeya ebissi omuli; enkumbi, ejjambiya, obwambe n’ebintu ebirala ebisongovu ku nguudo. Poliisi era eragidde abaduumira Poliisi mu bitundu eby’enjawulo okuwamba ebintu bino ebitundibwa ku nguudo kuba byongedde obumenyi bw’amateeka n’okuteeka obulamu bw’abantu mu katyabaga.
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga agamba nti okukwasisa amateeka mu basuubuzi mulimu gwa Kampala Capital City Authority – KCCA nti era bagenda kukwatagana ne KCCA okulaba nti batondawo embeera eyeyagaza ku nguudo.