Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 210 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi ewakanyizza ekyokutulugunya Nubin Li ne Eddie Mutwe

January 2, 2021 · Mubiru Ali
Uganda Police Force evuddeyo nesambajja ebibadde bitambuzibwa ku mikutu gya social media nti Ssebuufu Edward aka Eddie Mutwe ne Bukeni Ali aka Nubian li batulugunyiziddwa. Poliisi egamba nti bano bali mu kaduukulu kaayo e Masaka nti era ebibabadde bitambusibwa bigezaako kwonoona linnya lyayo wamu n’okukola amawulire.
Poliisi egamba nti ebifaananyi bino bikubiddwa olunaku olwaleero oluvannyuma lwokugibwako ebinkumu nga kikolebwa bwebaba bateekebwateekebwa okutwalibwa mu Kkooti.
Poliisi egamba nti yeyama okusigala nga ewa abasibe eddembe lyabwe naddala nga bali mu kaduulu nti era ekitongole kyayo ekya Cyber Crime kitandise okunoonyereza kubasaanya ebifaananyi ebyo bavunaanibwe.