Breaking
News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga News: Bannakibiina ki National Unity Platform 9 okuli Ssekitoleko Yasin Machete, Patrick Mwase, Sharif Kalanzi, Joseph Muwonge, Abdallah Kintu, Umar
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 316 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM
News

Poliisi evuddeyo ku katambi ka Eso corner

July 17, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo ku katamba akatambuzibwa ku Social Media nga kalaga obubbi mu kibuga Kampala. Agamba nti kyaguddewo nga 15-July-2024 ku ssaawa mukaaga ezomuttuntu ku Eso Corner mu Kampala era nga alabibwa mu katambi ngakubwa ye
Joshi Keshav, 32 Munnansi wa Buyindi ngakolera Kkampuni erambuza abantu esangibwa ku Crown House, Kampala Road. Joshi yaguddewo omusango ku Poliisi y’okuluguudo Nkurumah. Kigambibwa nti ababbi bano abamukubye nebamubba bamututteko ebintu omwabadde Laptop ebalirirwamu obukadde 2 mu emitwalo 20, ssente enkalu emirwalo 15, Ecobank debit card, wamu n’ebisumuluzo. Poliisi egamba nti yazzeemu okwekeneenya olugendo lwa Keshav era nebaako obujulizi bweyakuŋŋaanyizza obwomugaso obugenda okugiyamba okunoonya ababbi bano.