Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM

Poliisi evuddeyo ku bawagizi ba NUP abagambibwa okutomerwa Poliisi

November 30, 2020 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti Poliisi y’e Naggalama etandise okunoonyereza ku kabenja akamaanyi akaguddewo e Mayangayanga ku luguudo lw’e Nagojje.
Poliisi egamba nti akabenje kano kagudde ku ssaawa ttaano n’eddakiika 10 nga kabaddemu emotoka ya Poliisi ennawunyi wamu ne Piki piki bbiri okuli ekika kya Bajaj nga myuufu nnamba UDR 448C n’endala etategeerekese.
Onyango agamba nti abavuzi ba Booda booda bano babadde bavugisa kimama nga batisse abasaabaze babiri ng’oluguudo lubadde luseerera.
Emotoka ya Poliisi ebadde ebavaako emabega omu ku babadde bavuga booda booda naseerera naggwa wansi wa Patrol abalala ababiri bagudde ku motoka, owa Piki piki ye nabulawo ne Piki piki omuntu omu naddusibwa mu ddwaliro eritategeerekese nga ali bubi.