Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 229 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Poliisi etubidde n’omwana

November 7, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Matugga etubidde n’omwana eyabula ku bazadde be nga kati awezezza omwezi mulamba nga ali ku poliisi.
Ben Nsubuga 10,agamba yava e Kasenge ku lw’e Nakawuka nga kati poliisi erinda bazadde be okumunona naye bakyabuliddwa abamuzaala.
Nsubuga agamba nti kitaawe we ye David Kiwanuka avuga takisi e Nakawuka ate Maama we ye Teddy Namutebi nga mu kuggya ku poliisi waliwo omuvuzi wa boda boda eyamulonda namuleeta ku poliisi y’e Matugga n’amukwasa abaserikale.
Yagambye nti baali bamutumye ku dduuka ekkubo ne limubula natambula ng’anoonya ekkubo okukkakkana ngali gyatamanyi.
Omusango gw’okubula kwa Nsubuga guli ku fayiiro nnamba 05/05/10/2018