Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 246 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Poliisi etubidde n’abaana 72 n’abakyala 7

July 4, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi etubidde n’abaana 72 wamu n’abakyala 7 beyanunula mukikwekweto kyeyakola okukwata abateberezebwa okwenyigira mu kutta Susan Magara okuva mu muzigiti gwa Usafi emyezi ebiri egiyise.

Bano bebamu ku bantu e 118 Poliisi beyanunula okuva mu muzigiti ogw’amabaati nebateekebwa wansi w’obukuumi e Kibuli ku kitebe kya CIID.

Abamu ku baana n’abakyala bbo bakimwa bazadde baabwe n’abenganda zaabwe abazuulibwa nti tebalina kakwate ku bikolwa ebyali mu muzigiti guno.

Omwogezi wa Poliisi Emirian Kayima agamba nti Poliisi ekyalemedde abaana n’abakyala bano kuba teboogera gybaava wadde amannya g’abazadde baabwe. N’ekirala nti abasinga ku baana bano batto nnyo ate abalala tebasobola kumanya gyebaava.