Breaking
News: Ha ha haaa………Kisembedde! Nga bwokirinda ddamu kino News: Ssanyu Jjereere! Obuganda busagambiza News: Eee……essaawa yonna!! lindirira.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 226 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Poliisi etandise okuyigga eyatomedde omukyala namutta e Nanatabulirwa

December 19, 2021 · Mubiru Ali
Uganda Police Force mu ttundutundu ly’e Mukono etandise okunoonyereza ku kabenje akabaddemu emotoka etanategeerekeka ne Ddereeva w’emotoka ekika kya Sienta nnamba UBJ 255S nga njeru eyategeerekese nga Patricia Nabugabo.
Bino byabadde ku Jomayi Nantabulirwa nga 19-Dec-2021 ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro ku luguudo lwa Kampala-Jinja.
Kigambibwa nti emotoka etanategeerekeka yakulubudde Sienta, Nabugabo navaamu okukebera emotoka ye, awo emotoka endala etanategeerekeka weyamutomeredde nafiirawo. Poliisi esambazze ebibadde bitambuzibwa ku social media nti bamukubye masasi.
Poliisi egamba nti efunye obutambi okuva ku kkamera enkettabikolwa era nga etandise omuyiggo gwaba Ddereeva ababiri okuli eyakulubudde motoka ye n’oyo eyamutomedde namutta.
ASP Faridah Nampiima
PRO, Traffic and Road Safety