Breaking
News: Eyali akulira ebyokulonda e Mukono Emilly Amongin eyekyuusiza mu kiti nga embazzi bweyasooka kulangilira Jonhson Muyanja Ssenyonga owa National Unity Platform ngomuwanguzi ku bwa Ssentebe bwa Disitulikiti e Mukono ate oluvannyuma nalangilira Francis Lukooya Mukooma owa National Resistance Movement News: Munnakibiina ki National Resistance Movement News: Kkooti Enkulu e Masaka egobye omusango ogwatwalibwayo Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 346 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Poliisi etandise okuyigga Alien Skin – Luke Owoyesigyire

November 20, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi etwala ettunduttundu ly’e Katwe ne Kabalagala bwetandise okunoonyereza ku kigambibwa okubeera ettemu omwafiiridde Tumwesigye Joram 28, nga mutuuze w’e Makindye mu Kampala.
Luke era ategeezezza nti batandise okunoonyereza ku musango gw’obubbi wamu n’okulumya omuntu nga bino byabaddewo mu kiro kya 19-November abantu 3 bwebakubiddwa abantu okwabadde n’omuyimbi AlienskinUg nga bano kuliko; Dr. Matovu Zaidi, Muyanda Anthony ne Odongo Alex nga bano bakuumi ku ddwaliro e Nsambya.
Kigambibwa nti Tumwesigye yaleeteddwa abantu 6 abatanetegeerekeka nti wabula naafa oluvannyuma lw’essaawa 1.
Oluvannyuma lwa Tumwesigye okufa omuntu omu eyategeerekese nti ye Alien Skin yazze ngayagala empapula kwebajanjabidde omulwadde nti era bwebatazimuwadde nti ekibinja kye kyakubye omusawo wamu n’abakuumi oluvannyuma nebadduka.
Poliisi egamba nti yafunye sitaatimenti ku bantu ababaddewo nabo abalumiziddwa era nti etandise okunoonya abakoze ekikolwa kino bavunaanibwe.