Breaking
News: Akabonero kEngule kaba kakutuuyunira baaba. Muzeeyi alajanidde Endukusa emutaase! Engule 2026 News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 390 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi etandise okuyigga abakwatiddwa ku katambi nga bakuba omusajja

May 24, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti okunoonyereza ku bikolwa ebyakwatiddwa ku katambi okuva ku kkamera enkettabikolwa kwatandise dda nti era omwami eyalabikiddemu ngakubwa ye Mugisha Tomson, 40, omutuuze w’e Kyebando nga yali akubwa abantu abatanategeerekeka.
Bino byali ku Ben Kiwanuka Street ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro, nga 22-May-2024. Poliisi egamba nti Mugisha bamubbako emitwalo 45, ensawo eyalimu ebiwandiiko bye, ebisumuluzo wamu ne container.
Poliisi egamba abantu 2 bategeerekese era nga bagiyambako mukunoonyereza kweriko okusobola okuzuula abo abenyigira mu kikolwa kino bavunaanibwe.
Poliisi ekubirizza abantu okubeera obulindaala buli kaseera wamu n’okukuba enduulu oba okutegeeza Poliisi singa wabaawo obuzibu bwonna.