Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi etandise okuwenja aba Booda booda abakuba emotoka za Gavumenti

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwekizudde nti waliwo abamenyi b’amateeka abagufudde omugano okutandika okwonoona emotoka za Gavumenti zebasanga nga zitambula ku nguudo.
Onyango agamba nti bano bakozesa bbomu enjingirire nga zirimu amafuta nebazikasuka okukuba endabirwamu z’emotoka zino wamu n’okuzozesa ebyuuma okuzaasa.
Poliisi nga ekozesa kkamera enkettabikolwa yakizudde nti bino byakakolebwa e Katwe, Nateete ne Busega.
Poliisi egamba nti esuubira ebikolwa bino byandiba nga bikolebwa okusindiikiriza Gavumenti ekirize aba Booda booda okuvuga abantu.
Ab’ebyokwerinda basobodde okuzuula abantu 5 ababadde bakozesa Piki piki era nga kati ebawenja buseenene.
Booda booda nnamba UEU 391F abagiriko kigambibwa nti bakuba emotoka ya Gavumenti nnamba UG 0450T nga 23-June-2020. Emotoka endala nnamba UG 0182H aba Booda booda bamusaba ayimirire basale naye kyeyakola wabula omu ku bbo nagyayo ennyondo nakuba endabirwamu najaasa wabula balemererwa okweyongerayo ne kyebaali bakola oluvannyuma lw’ennyondo okugwa mu motoka nebadduka.
Nga 26-June-2020 ku nkulungo y’e Busega balumbye emotoka nnamba UG 0199K, Toyota Fortune nebagikasukamu bbomu enjigirire ku muto gw’omusaabaze era nekwata omuliro wabula abantu ababadde okumpi nebagizikiza.
Poliisi egamba nti bano etandise okubanoonya era omuntu yenna abamanyi oba abalabye awantu wonna osobola okukuba ku nnamba zino; 0714668079, 0714667793, 0718452616, 0715986952, 0715989979, 0772858872

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort