Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 1,166 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Poliisi etandise okusomesa abantu ku by’okwerinda

June 20, 2018 · Mubiru Ali

Omuduumizi wa Kampala n’emiriraano CP Moses Kafeero Kabugo ayingidde munsonga z’obutali butebenkevu wamu n’okubba ettaka e Mukono mu zooni y’e Kirangira.

Yasabye bannamateeka n’abo bonna abakola kunsonga z’ettaka okukolera awamu ne Poliisi, era bwatyo n’asaba abo bonna abagugulana olw’ettaka okukozesa kkooti z’amateeka okwewala okwonoona ebintu by’abantu.

Yasabye abatuuze wamu n’abakulembeze b’ebyalo okukolera awamu ne Poliisi nga bawaayo abo bonna abamenyi b’amateeka mu bitundu byabwe okusobola okubatwala mu mbuga z’amateeka.