Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing · 218 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM

Poliisi etandise okunoonyereza kubawambye Munnansi wa Pakistani e Kireka

September 30, 2022 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Kira Division bwetandise okunoonyereza ku kuwambibwa wamu n’obubbi obweryanyi obwakoleddwa ku lwokuna nga 29-09-2022 ku ssaawa nga kumineemu ezolweggulo mu Kireka Zone, Namugongo Parish, Kira municipality, mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Kigambibwa nti Rafik Khan 36, nga Munnansi wa Pakistani omutuuze w’e Kiwatule-Nakawa, yayimiriziddwa ekibinja kyabantu nga 2 ku bano babadde babagalidde emigemerawala ekika kya SMG nga babambadde ebyambalo byamaggye ate abalala nga bali mu ngoye zabulijjo.
Ono yagiddwa mu muto gwa ddereeva mu motoka ye ekika kya Probox nnamba UBM 877B nebamupakira emabega n’oluvannyuma nebeggyawo nga bakozesa oluguudo lwa Northern By-Pass.
Abatamanyaŋŋamba bano abatanategeerekeka oluvannyuma Khan bamusudde ku kyalo Kaasangalabi ku luguudo lwa Kayunga – Mukono.
Poliisi egamba nti emuggyeeko sitaatimenti nategeeza nga bwebamubbyeeko ddoola 300, eza Yuganda emitwalo 70 wamu n’essimu bbiri ekika kya Samsung.
Poliisi egamba nti ezzeeyo mu kifo nekizuula nti bano bagidde mu motoka ekika kya Toyota Fielder nebayimirira okulinda Khan. Poliisi egamba nti etandise okulondoola emotoka zino ngekozesa kkamera enkettabikolwa okuzuula emotoka eno Fielder yatambudde etya era yani.