Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 187 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi etandise okunoonyereza ku kibwatukidde mu bbaasi

October 25, 2021 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo ku kubwatuka okubadde mu bbaasi ya Kkampuni ya Swift Safaris; “Abakugu mu bbomu basindikiddwa e Lungala ku luguudo lwa Kampala – Masaka oluvannyuma lwokubwatuka okwamaanyi okubadde mu bbaasi ya Kkampuni ya Swift Safaris nnamba UAU 989T, ku ssaawa kumineemu ezolweggulo.
Bbaasi eno ebadde eva Kampala ngedda Bushenyi. Abantu 2 bakakasiddwa okuba nga bafiiriddewo n’abalala abawerako nebabuuka n’ebisago. Poliisi esazeeko ekifo kino okusobola okukola okunoonyereza okulaba oba nga ddala ebadde bbomu.”