Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 392 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi etandise okunoonyereza ku biwandiiko bya Bannabyabufuzi

March 22, 2021 · Mubiru Ali
POLIISI ETANDISE OKUNOONYEREZA KU BIWANDIIKO:
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ekya CID Charles Twine avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwetandise okunoonyereza kubigambibwa nti waliwo Bannabyabufuzi abakozesa ebiwandiiko ebijingirire okwesimbawo.
Twine agamba nti batandise okunoonyereza ku mpapula za Bannabyabufuzi abawerako okusobola okuzuula ekituufu naddala kukujingirira wamu n’okukyuusakyuusa ebiwandiiko nti era anazuulibwa nga yabijingirira wakuvunaanibwa.
Twine agamba nti okunoonyereza kuyita mu mitendera era kutwala ebbanga nayongerako nti okunoonyereza kuno tekutegeeza nti bajja kugibwa mu offiisi nga Kkooti zokka zezirina okukikola.