Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 214 listening Simba FM Live
News

Poliisi etandise okunoonyereza ku batiisatiisa Ababaka – Fred Enanga

May 22, 2023 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda bwebatandise okunoonyereza ku bibaluwa kiro kitwalwa omunaku ebyaweerezeddwa Ababaka ba Palamenti nga ababiweerezza beyita ‘disgruntled officers’ nga bagamba nti bakutta Ababaka bano singa tebabawa ssente zebasabye.
Omubaka wa Makindye East Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP, Hon Nyeko Derrick yategeezezza nti yafunye message ku WhatsApp okuva eri omuntu gwatamanyi ngamusaba obukadde 10 oba attibwe.
Agamba obubaka yabufunye okuva ku nnamba +971567751087 ngeva mu Association of Tired Officers in Uniform nga bamusaba ssente ataase obulamu bwe.
Nyeko agamba nti obubaka bwavudde w’akola nga Pulezidenti wa Association of Tired Officers in uniform from Uganda nebamutegeeza nti bamukoledde embalirira y’amasasi 4 gokka nti wabula bwabawa obukadde 10 nga bagategekera omuntu omulala.
Enanga ategeezezza nti n’Omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Mityana Hon. Joyce Bagala Ntwatwa naye yafunye ebbaluwa yemu, nti abebyokwerinda ensonga eno batandise okuginoonyerezaako.
Aba Association eno bagamba nti mulimu abasirikale bwa Poliisi wamu n’abamaggye abasazeewo ensonga okuzekwatiramu nga batiisatiisa Ababaka ba Palamenti.