Breaking
News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Okwewandiisa mu Ngule kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Abasawo be Masaka abaali bakwatibwa ku biragiro bya Minisita wa Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 418 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Poliisi etandise okukwata abanyakula amasimu mu jam

January 15, 2024 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force eya Kampala Metropolitan Police Luke Oweyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyanukudde omulanga gw’abantu ku banyakula amasimu mu bitundu bya Lower Nsooba, Upper Nsooba, UEB, Kagugube, n’ebitundu ebirinaanyeewo ngera Poliisi y’e Wandegeya etandise ebikwekweto n’ekigendererwa kyokufuuza bakyalakimpadde bano.
Poliisi egamba nti yakakwata abavubuka 7 nga abamu ku bano bakwatibwa ku butambi kkamera enkettabikolwa nga banyakula amasimu ku bantu abatambulira mu bidduka. Abamu ku bano kuliko; Ogema Rickson aka Ricky, ngono abadde azinyakulira ku Shell Mulago ne Mawanda, Kakooza Mike aka Aidari,16, Kigozi Marvin 22, Ssekyanzi Mark 19, Amanya Bruce 22 ne Lukwago Abdu aka Patrol 20.
Poliisi egamba nti ekyagendera ddala mu maaso n’okukola ebikwekweto okulaba nti bonna abenyigira mu muze guno bakwatibwa. Poliisi egamba nti kati eteereddewo ddala basajja banyo okulaba nti etumbula obukuumi.