Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 310 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Poliisi etandise ebikwekweto okufuuza abo bonna abatalina ppamiti

March 20, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP kananura Michael, avuddeyo nategeeza nga bwebagenda okukola ekikwekweto wiiki eno yonna ku bavuzi b’ebidduka okuli emotoka ne piki piki abatalina ppamiti, abalina naye nga kkiraasi gyalina siya kidduka ekyo wamu nabo abalina ezaggwako. Ono ayongerako nti akawayiro 35 aka Traffic and Road Safety, amendment Act 2020, kagamba nti teri muntu yenna akirizibwa kuvuga kidduka ngatalina ppamiti oba kkiraasi emukiriza kuvuga kidduka ekyo okuggyako ngalina layisinsi y’abayiga. Ekibonerezo kyoyo akwatibwa ngamenye etteeka lino awa engasi ya currency points ezitasukka 300 gyemitwalo 60 oba okusibwa ebbanga eritasukka myezi 6 oba byombi. Kananura ategeezezza nti abo abanakwatibwa bakuweebwa ebipapula ebyokusasulirawo era nabo aba booda booda abanasangibwa nga tebalina ppamiti, reflective jackets ne helmet nabo bakukwatibwa.