Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing · 232 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Poliisi etabuse ku kalango ka Jesa Jus

March 12, 2024 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga obukulembeze bwa Poliisi bwebuvumirira ne ssekuvumirira akalango ka ‘JESA JUS’ akakoleddwa nekateekebwamu omusirikale w’ebidduka by’okunguudo nga kalaga nti yabadde akola emirimu gye egyabulijjo ku luguudo nayimiriza emotoka okugyekebejja.
Ddereeva w’emotoka n’abaana beyabadde atisse yabasabye ku kyokunywa kya ‘JESA JUS’ era nabaleka bagende ebyokwekebejja emotoka nabivaako. Poliisi egamba nti akalango kano kayolese omusirikale wa Traffic ngomuli w’enguzi kungwa era omwangu okuliisa enguzi.
Ddereeva alabibwa mu kalango kano ngaliisa owa Traffic enguzi mu maaso g’abaana nga kino bonna n’omusirikale wa Poliisi kibooleka ng’abamenyi b’amateeka.
Kati Poliisi eyagala Jesa eggyeyo akalango kano, era esimuulemu ekitundu ky’omusirikale wa Traffic era ekayimirize okuzannyibwa ku mukutu ggwonna. Bwetakikole bakubatwala mu mbuga z’amateeka. Enanga akubirizza abo bonna abaagala okukola obulango nga mulimu ekifaananyi kya Poliisi okusaba olukusa nga tebanakafulumya.