BREAKING NEWS
Observer: R. Nguse boat accident: Five more bodies retrieved MBU: Aroma exposes industry pressures and unethical exchanges Observer: Works convenes joint meeting to streamline motor vehicle registration Pulse Uganda: Missing student Victor Katungi found East News: Uganda’s Participation in the International Criminal Court: Risks Outweigh Benefits East News: Kapelebyong’s Labira Girls School Faces New Challenges as Enrollment Surges MBU: Dr. Hilderman applauds Silver Kyagulanyi’s 60% role in drafting Copyright Act Pulse Uganda: Uganda conducts Africa’s first fish census

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Poliisi etaasizza ababadde babba aba mobile money e Kakiri okuttibwa abatuuze

Uganda Police Force etaasizza abasajja basatu okuttibwa abantu ababadde bataamye obugo bwebabadde bagezaako okubba aba mobile money mu bitundu by’e Kakiri.
Bano babadde befuula abaagala okuggyayo oba okusindika ssente nebafundikira nga babbye ssente okuva ku ba Agent.
Ba Agent bwebakitegedde nti babiddwa olwo nebatemya ku batuuze abatandise okubayigga nga bano babasanze balina gwebagezaako okubba.
Abakwatiddwa kuliko Kigabane Samuel 53, ow’e Mende Wakiso, Nsimbwa Isaac 25, ow’e Namasuba – Makindye Kampala ne Kigundu Stuart 18, ow’e Kayunga.
Bano babadde batambulira mu motoka ekika kya Ipsum nnamba UAQ 122K nga njeru.
Ababadde babiddwa kuliko; Namulindwa Immaculate 20, ow’e Kitolotolo, Luwunga, Kakiri ne Namuli Diana 25, owo Mukigaga zone Kakiri Town Council. Bano bakuumirwa ku Poliisi y’e Kakiri.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply