Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 275 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi esse omutuuze e Nakabugo mu Nansana

July 25, 2023 · Mubiru Ali
Abatuuze ku kyalo Nakabugo mu Disitulikiti y’e Wakiso, bakeeredde mu ntiisa abaserikale ba Uganda Police Force nga bano babadde mu ngogye ezabulijjo bwebakubye omukazi amasasi agamuttiddewo.
Jackline Namwanga 34, abadde akedde okugenda mu nnimiro kwekulaba abasirikale bano ababadde bakedde okukola ekikwekweto ku kyalo nga baagala okukwata muliraanwa we ayitibwa Kiboneka Joseph ku nsonga ezitanategeerekeka, olubalabye kwekukuba enduulu nebamukuba essasi erimutiddewo.
Wasswa nga kitegeerekese nti ye bba wa Namwanga atiddwa agamba nti mukyala we olukubiddwa ebyasi nebamuyoolawo mangu, era omulambo gwe tegunamanyibwa gyeguli.
Nalwanga alese abaana 5.