Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 449 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi esse omu nekwata babiri

January 30, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi olunaku lw’eggulo yakutte ababbi babiri ate omulala nemuttirawo oluvannyuma lw’okuwanyisiganya amasasi. Bano bakwatiddwa oluvannyuma lw’okubba omukyala eyategeerekeseeko erya Nakusoke Najjemba 60 ow’e Kitende Kajjansi Division. Abasirikale ba Patrol batemezeddwako nti ababbi babadde batambulira mu motoka nnamba UAW 694L era nebatandika omuyiggo gwayo.

Patrol bweyagirabye netandika okugigoba era nebagisisinkana e Kabalagala nebatandika okuwanyisiganya amasasi okukakana nga omu bamukubye nafa. Abakwatiddwa kuliko Kalule Frank ne Mbayitayizibwe John ate eyatiddwa yategereekeseeko erya Mohammed. Bano bakuumirwa ku Poliisi y’e Kabalagala nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.