poliisi esse babiri e kyambogo ababadde baagala okubba

Ekitongole ekikettera munda mu Ggwanga ekya ISO nga kiri wamu ne Poliisi olunaku lw’eggulo ekiro bakubye abasajja babiri amasasi agabatiddewo. Kigambibwa nti bano abakubiddwa amasasi babadde babbi nga batambulira mu motoka ekika kya Premio nnamba UAK 790P nga babadde bagezaako okubba emotoka etambuza ssente eyabadde eva e Mukono nga eyolekedde Kampala.
Bano babadde bagiteeze Kyambogo ku ssaawa nga emu ey’ekiro.
Kubatiddwa kuliko Private Turyatunga Bright okusinziira ku ID eyasangiddwa munsawo ye nga ya ggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga erya Special Forces Command (SFC).
Kigambibwa nti ono abadde yadduka mu maggye mu mwaka 2012 wabula nakwatibwa mu bubbi nasibwa mu kkomera e Luzira okumala emyaka 4 era nga abadde yakavaayo emyezi ebiri egiyise.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Obwakabaka bwakuzizza olunaku lw’abakyala mu Buganda