Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi esse ababbi babiri Mu Kampala

Ebitongole by’ebyokwerinda ettuntu lyaleero lisse ababbi babiri ababadde batigomya Mutundwe mu Rubaga Division mu Kampala. Bano bebamu ku kibinja ky’ababbi 10 ababadde bazimba ekiyumba mu lutobazi olusangibwa mu Mirembe Zone wansi wa Ppaaka y’e Nateete nga ekifo babadde bakituuma ‘Jungle’ nga bbo beyita ‘Jungle Gang’.
Nga kigambibwa wano webabadde bava okutigomya Abantu.
Leero babadde bava kubba, Abantu kwekutemyako Poliisi nebagoba kwekuttako babiri abalala abasuubirwa okuba nga balumiziddwa badduse nebabulira mu kisenyi.
Ababiri bategeerekese ng’omu ye Bonny ate omulala Kizza nga.
Munnyumba yaabwe musangiddwamu, laptops, hard discs, Go TV decorders, ejjambiya wamu n’enjaga.
Omuyiggo gwabalala gugenda mu maaso era Uganda Police Force esaba Abantu nti bwebalaba Omuntu yenna n’ebiwundu by’amasasi batemye ku Poliisi mangu ddala.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort