Breaking
News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu! News: Minisita avunaanyizibwa ku byentambula nenguudo Hon. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye abaami beggombolola okuva mu masaza ga Buganda, twogedde ku nsonga ezenjawulo naddala engeri gye
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 447 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi esse ababbi babiri e Kigoowa

February 13, 2020 · Mubiru Ali

Mu kiro ekikeeseza olwaleero abasirikale ba Poliisi okuva ku Tuba Police Station bayitiddwa bunnambiro ku ssaawa ssatu ez’ekiro nga bwewabaddewo obubbi obugenda mu maaso mu maka ga Natif Nicholas agasangibwa mu Matayo close Kigoowa II Zone in Bukoto II Parish .
Kigambibwa nti abasajja bana bakubye omukuumi nebawamba nannyini Waka eyabadde ayingira mu kikomera nebamuteeka mu motoka ye ekika kya Toyota Harrier enjeru nnamba UBD 239A n’ekigendererwa ekyokumuwamba n’okutwala emotoka ye.
Poliisi yatuuse mu bwangu ababbi nebagezaako okubatomera ekyawaliriza Poliisi okukuba amasasi mu bbanga neberema, Poliisi kwekuboolekeza amasasi agasseeko ababbi babiri erimu nerikuba Natif mu kugulu eyaddusiddwa mu Ddwaliro lya Nakasero Hospital okufuna obujanjabi.
Ababbi abalala badduse era nga Poliisi ebawenja buseenene.