Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 456 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Poliisi esabye ba blogger okutwala obujjulizi bwebalina ku musango gwa Hajat ne Hajji

October 28, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force ACP Rusoke Kituuma avuddeyo ku musango gwa Hajat ne Hajji, Hajat mweyaviirayo nanenya Poliisi obutamuyamba ng’omwana we asobozeddwako.
Poliisi egamba nti baakola byonna ebigobererwa era omwana nalumiriza Hajji okumusobyako era bamuggyako sitaatimenti nebamutwala nebamukebera era nekizuulibwa nti omwana yali yegatta n’omuntu.
Rusoke agamba nti ebirala byonna kati bisigalidde Kkooti okuzuula muntu ki gweyegatta naye. Rusoke asabye ba Bloggers okutwala obujjulizi bwebalina eri Poliisi okusinga okudda mukukubaganya ebirowoozo.
Rusoke ayongeddeko nti bwebaba balina obujjulizi nti omwana omuwala ate yavaayo neyekuba engalike nti bamusindikiriza okwogera nti Hajji yamusobyako okutwala obujjulizi obwo eri Poliisi eyambibwe mu kunoonyereza kweriko.
#ffemmwemmweffe
Bya Kamali James