Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 491 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

‘Poliisi erina kuwa bantu bukuumi’- Hon. Rugunda

May 18, 2019 · Mubiru Ali

Ssaabaminisita wa Yuganda Dr. Ruhakana Rugunda avuddeyo nawabula Poliisi erekerawo okweterawo ebiragiro byayo nga eteekesa mu nkola etteeka erifuga okukuba enkungaana Public Order Management Act (POMA).

Bino yabyogedde asisinkana Bannamawulire oluvannyuma lwakafuba n’ebibiina by’obufuzi ebyegattira mu mukago gwa Inter Party Organisation (IPOD) ku Offiisi ye.

Ssaabiminisita yagambye nti buvunaanyizibwa bw’ebitongole ebikuuma ddembe naddala Poliisi okulaba nti eteekawo embeera ennungamu ey’eddembe. Nti era tewetaaga kubeerawo kusika muguwa n’abannansi abaagala okutuula wansi nebawuliriza abakulembeze baabwe kyebabagamba awatali abakuba ku mukono.