Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Poliisi erina abasirikale 8000 nga tebaliiyo

August 9, 2018 · Mubiru Ali

Okusinziira ku alipoota eyakwasiddwa IGP Martin Okoth Ochola, okusinziira ku URN eraga nti Poliisi erimu abasirikale 8000 abaweebwa omusaala naye nga tebaliiyo. Alipoota eno eraga nti Poliisi erimu abawerera ddala 40000.

Nga tebanakola kubala Basirikale okwekikungo ebiwandiiko bibadde biraga nti Poliisi erimu abasirikale 47300. Kigambibwa nti IGP yalagidde abakoze okubala kuno bakole okunoonyereza bazuule engeri abasirikale abekikwangala gyebatuuka ku nkalala okusasulirwa omusaala. Kigambibwa nti abamu kubano bebasirikale abadduka mu Poliisi, abawumula wabula nebasigala kunkalala.