Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 542 listening Simba FM Live

Poliisi eremesezza Mukaaku ne Lulume okuyingira ekitebe kya DP

August 16, 2022 · Mubiru Ali
Uganda Police Force enkya yaleero etutte ekiwayi kya Bannakibiina kya Democratic Party Uganda nga tebalinnya oluvannyuma lwokulinnya eggere mu nteekateeka zebabadde bakoze ezokwezza ekitebe ky’ekibibiina nga bawakanya obukulembeze bwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka n’essiga eddamuzi Norbert Mao.
Bano nga babadde bakulembeddwamu Omubaka Dr. Lulume Micheal Bayiga ne Lubega Mukaaku Samule Walter Poliisi ebalemesezza okuyingira ekitebe kya DP ekisangibwa ku Balintuma mu Kampala. Bano baweerekerezza Poliisi ebisongovu nga bagamba eyinza etya okubagaana okuyingira ewaabwe era nebesoma nti ketonnye kagwake balina okwediza ekitebe kino.