Breaking
News: Abatamiivu e Nebbi batonedde Ekereziya ssente. News: Bannayuganda abawulira nti Uganda teriimu mirembe mugifulume – Krina Styla News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 194 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

poliisi eraze obukodyo mu kweyambisa ennyonyi

February 23, 2019 · Mubiru Ali

Olunaku lw’eggulo ekitongole kya Poliisi ekya Uganda Police Force Air wing kyayolesezza obukugu bwekirina mu kuyamba wamu n’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka nga kiyita mu bbanga eri omumyuka w’omuduumizi wa Poliisi Maj. Gen. Sabiiti Muzei ku kisaawe ky’e Kajjansi.
Bano balaze obusobozi bwebalina mu kulwanyisa omuliro mu bifo ebigazi wamu ne ku bizimbe ebiwanvu ennyo nga bakozesa Helicopter, okutuusa obuyambi eri abantu abali mu bitundu emotoka gyezitasobola kutuuka, wamu nokutuusa obuyambi obw’obujanjabi eri abo ababa balumiziddwa.
Bano era bayolesezza obukodyo mukugoba abamenyi b’amateeka abeyambisa emotoka nga Poliisi ekozesa Helicopter. Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi yategeezezza nti ekitongole kino kigenda kufuna Helicopter endala ekika kya fix wing air craft P 180 Evo. Ekitongole kino kirina abagoba b’ennyonyi 13.