POLIISI ERABUDDE BA SSENTEBE BA LC

Pinterest LinkedIn Tumblr +
POLIISI ERABUDDE BA SSENTEBE BA LC1: https://youtu.be/PYCDPHJtFdA
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga; “Twagala okulabula ba Ssentebe ba LC1 abakozesezza obubi obuyinza bwabwe obwokuwa abantu ebbaluwa kwebatambulira abo abalina emergency bebaziwadde nga tebalina buzibu bwonna. Ebbaluwa zonna eziwambiddwa zakuweerezebwa Inter Agency Task Force okutwala ensonga zino mu maaso.
Mu wiiki ewedde abantu 1445 bebakwatibwa nga bamenye ekiragiro kya curfew nga ku bano 766 balabulwa, 490 bateebwa ku kakalu ka Poliisi, 81 bakyanoonyerezebwako ate 108 basimbibwa mu Kkooti.
Emotoka 633 zakwatibwa nga 283 zakubwa ebipapula, 306 balabulwa, 38 zikyanoonyerezebwako, 4 bannyini zo tebalabikako.
Piki piki 3884 zakwatibwa, 2706 zakubwa ebipapula, 398 sikyanoonyerezebwako ate 48 bannanyini zo tebalabikako. https://youtu.be/PYCDPHJtFdA
Share.

Leave A Reply