Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 359 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi enoonya abateeberezebwa okuba nga begasse ku bayeekera ba ADF

April 12, 2023 · Mubiru Ali
Ebitongole by’ebyokwerinda ebirwanyisa ebikolwa eby’obutujju, bitandise muyiggo gw’abantu 16 abateeberezebwa okuba nga beegasse ku kibinja ky’abayekera ba ADF abali mu Democratic Republic of the Congo.
Okusinziira ku mwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga agamba nti abantu bano abateeberezebwa okuba nga begasse ku ADF babadde babeera mu bitundu bye Kkonge – Lukuli mu Ggombolola ye Makindye mu Kampala.
Enanga akakasizza okubulawo kw’abantu bano naategeeza nti bano baabuzeewo n’abaana abali wakati w’emyaka 5-7 nga bateebereza okuba nga baabatutte mu buyeekera, naye bakola buli ekisoboka okulaba nga babazza kuno.