Poliisi ekutte takisi gyebabadde bakozesa okubba abantu e Mukono

Pinterest LinkedIn Tumblr +
POLIISI EGIKUTTE LWA BUBBI;
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi e Mukono bwekutte emotoka ya takisi nga njeru nnamba UAP 841C Toyota Hiace. Kigambibwa nti emotoka eno okukwatibwa kivudde ku bantu abawerako abavuddeyo nga bemulugunya ku mikutu gya ‘Social media’ nti ebadde ekozesebwa abatamanyangamba ababba abasaabaze.
Poliisi esaba oyo yenna eyabbibwako mu motoka eno okugenda ateekeyo omusango ggwe ku Poliisi e Mukono. Ddereeva yakwatiddwa nga bwanoonyerezebwako.
Share.

Leave A Reply