Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 311 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte Takisi 10 lwakusomba basaabaze okuva e Mutukula

June 10, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force wamu n’Eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF e Maska bakutte Taxi eziwerako nga kigambibwa nti zino zabadde zitisse abasaabaze nga zibajja e Mutukula ekisangibwa mu Disitulikiti ey’okunsalo ey’e Kyotera nga kino kikontana n’ekiragiro ekyaweebwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okusobola okuziyiza okusaasana kw’ekirwadde kya #COVID-19.

Takisi 10 zakwatiddwa nga zino zasangiddwa nga zitisse abasaabaze nga ziyita mu makubo agesudde ekibuga Masaka mu Ggombolola y’e Kyanamukaaka ne Kyesiiga. Takisi wamu n’abazibaddemu bonna bakuumirwa ku Poliisi e Masaka nga balindirira okukeberebwa.