Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing ยท 163 listening Simba FM Live
News

Poliisi ekutte owa Takisi eyavugira TikToker waggulu ku motoka

July 16, 2025 · Mubiru Ali
Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Uganda Police Force bweyakutte ddereeva wa Takisi eyalabikidde mu katambi nga evugibwa mu kibuga n’omuvubuka nga atudde ku katebe mwasajjute akateereddwa ku katanda kaayo nga bweyemiisa ebyokunywa. Ddereeva wa Takisi eno eyaweereddwa emitwalo 2 okukola akatambi ka TikTok yavunaaniddwa omusango gwokusaabaza omuntu mu ngeri eyobulabe. Ye Tiktoker eyabadde atudde waggulu akyanoonyezebwa era bwanakwatibwa wakuvunaanibwa.
#ffemmwemmweffe