Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 222 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Poliisi ekutte owa booda booda abadde azigirira ababbi abantu abaggye ssente mu bbanka

February 28, 2022 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga CCTV Command Centre ng’ekolera wamu Poliisi ya Kira Division bakutte omuvuzi wa booda booda nnamba UFG 326 Z, ategeerekese nti ye Mawazi Jimmy, oluvannyuma lwokukwatibwa ku butambi bwa kkamera enkettabikolwa mu bitundu ebyenjawulo ngalondoola ba kkasitoma ba bbanka ab’enjawulo okutuuka webateeka emotoka zaabwe oba okuyimirira okubaako kyebagula oba okulya.
Ono oluvannyuma ayita banne abatambulira mu motoka emu ekika kya Toyota Spacio endala Toyota Wish abajja nebamenya emotoka gyabadde agoberera nebakuulita ne ssente wamu n’ebintu ebirala.