Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 248 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi ekutte omuwala akuba abasajja kalifoomu n’abanyaga

May 24, 2019 · Mubiru Ali

Ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obuzigu ekya Police Flying Squad Unit mu Kampala n’emiriraano kikutte omukazi Jackie Wine Mbabazi agambibwa okuba nga abadde asikiriza abasajja abakyakaze namala nababbako ebintu byabwe.
Mbabazi abadde ateega abasajja mu bifo ebisanyukirwamu nabasikiriza okugwa mu mukwano naye nabateera ebiragalalagala mu by’okunywa nga bali mu bbaala oba mu maka gaabwe.
Bwakizuula nti ebiragala bimukutte nga ayita mikwano gye okujja gimuyambeko okubba omuntu gwaba afunye. Ono wakusimbibwa mu Kkooti ya City Hall avunaanibwe omusango gw’obubbi.