Poliisi ekutte omuvubuka lwakuwamba mwana wa Landlord

Poliisi ya Kira Division ekutte omuvubuka Jjuuko Derrick nga wamyaka 20 lwakuwamba mwana ow’omwaka ogumu okuva ku landlord we e Bulindo Kiwologoma Municipality Wakiso District.

Maama w’omwana ono Juliet Nankunda yaddukira ku poliisi ye kiwologoma nagulawo omusango era nawaayo ne nnamba z’essimu ez’omuvubuka ono gwebatandika okunooya. Nankunda agamba nti yalina emirimu gyakola Jjuuko namusaba amukwatireko ku mwana nga bwamaliriza emirimu gye wabula kyamubuukako nga talaba mwana we ate nga ne Jjuuko adduse.

Agamba nti ono yakwatamu ebyanguwa nalinnya taxi ezidda e katosi ewa mukwano gwe. Ono akuumirwa ku poliisi ya Kira Division nga bwebalindirira okumutwala mu kkooti.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Youths arrested at Parliament as they tried to deliver petition to Speaker.