Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 183 listening Simba FM Live
News

Poliisi ekutte omuvubuka eyewaanye okubeera owa ADF e Lugazi

June 20, 2023 · Mubiru Ali
Ekitongole kya Crime Intelligence nga kikolera wamu Uganda Police Force e Buikwe ekutte Kalanzi Resto ow’emyaka 25 omutuuze ku kyalo Nnamengo mu Lugazi Municipality eyalabikidde mu katambi akaasasanidde omutimbagano gwa TikTok nga yewaana nga bwali omuyeekera wa ADF era nga y’omu ku batirimbudde abaana b’essomero lya Lhubiriha Secondary School e Kasese.
Okusinziira ku Poliisi ono mutunzi wa dduuka so si muvuzi wa booda booda nga bw’abadde agamba era essaawa eno akuumirwa mu kadduukulu ka Poliisi enkulu e Lugazi nga bwalindirira okutwalibwa mu Kkooti.