Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 140 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte omuvubuka abadde abba piki piki

August 13, 2020 · Mubiru Ali
Uganda Police Force e Nabbingo ekutte omuvubuka Bujunju Henry, nga agambibwa okuba nga abadde yenyigira mu bubbi bwa Piki piki nga emukwasizza ye ya Stephen Ssembalirwa.
Kigambibwa nti Bujunju nga mutuuze mu Nansana Municipality olunaku lw’eggulo yabbye piki piki okuva e Nabbingo, era mu bunambiro Ssembalirwa yatemezza ku Poliisi nayo eyatandise omuyiggo nga ekozesa kkamera enkettabikolwa bwetyo nezuula nga Bujunju piki piki yabadde agitadde mu galagi emu e Kawaala.
Bujunju bwasoyeddwa kajogijogi w’ebibuuzo ategeezezza nti ddala kituufu abadde abba piki piki nazitunda e Masaka mu Nyendo.
Ono akuumirwa ku Poliisi y’e Nabbingo nga bwenoonya ababadde bagula piki piki zino enzibe.