Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi ekutte omusumba w’abalokole anywesa abantu eddagala ly’obutwa

Poliisi mu Rwenzori West ekutte abantu nebatwala mu Kkooti ku byekuusa kitongole ekyeyita eky’obwannakyeewa ekya Global Healing Christian Missions nga kino kibadde kigabira Abalokole mu Disitulikiti okuli Kyenjojo ne Kabarole eddagala ery’ebyewuunyo ‘Miracle Cure’ nga bagamba nti liwonya Cancer, Siriimu, omusujja n’endwadde endala nnyingi nnyo. Ekitongole kino kibadde kiteekebwamu ensimbi Munnansi wa Bungereza Sam Little 25.
Eddagala lino lyakwatibwa neritwalibwa mu National Drug Authority wamu ne Government Analytical Labaratories n’ekizuulibwa nti lyali lyabutwa eri abantu nga terisaanye kunywebwa.
Abantu bana bebakakwatibwa nga kuliko; Sam Little 25, nga yajja nga omulambuzi, Pastor Tim Tom 34, nga musumba W’abalokole ku Kkanisa ya Fort Portal Christian Fellowship, Samuel Albert 28, Musawo wakinnansi ne Samula Tadeo 26.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort