Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 324 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte omusajja lwakusibira mwana munju

June 5, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ye Katwe ekutte Shaban Musasizi 35 lwakusulirira mwana we. Ono avunaanibwa gwakusibira mwana ow’emyaka 8 okumala emyezi nga taweebwa mmere olw’okuba yayawukana ne maama we.

Musaasizi wakuvunaanibwa gwakulagajalira mwana, ono yakwatiddwa oluvannyuma lwabalirwana be okutemya ku poliisi. Omwana yakwasiddwa avunaanyizibwa ku nsonga z’amaka e Makindye okufuna obujanjabi. Musaasizi ye ali ku poliisi ye Katwe.