Poliisi ekutte omusajja lwakumenya nnyumba yamulirwana we nga ayagala okubba ettaka lye

Juma Kayondo akwatiddwa Poliisi lwakumenya nnyumba ya Yusuf Ssemakula e Kitoko Kira Municipality. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire yagambye nti Kayondo amanyiddwa nga Prince omusango yaguzza nga 8-July-2018 nga agamba nti ettaka ennyumba kweyali lyali lirye.

Poliisi bweyakoze okunoonyereza yakizudde nti Kayondo abadde yagufuula mulimu ogw’okubba ettaka ly’abantu nga ayita mukumenya amayumba gaabwe era nga abadde atunda ettaka ly’abantu nga akozesa ebyapa ebijingirire.

Oluvannyuma lw’okukwatibwa abantu ab’enjawulo bavuddeyo nga balumiriza Kayondo olw’okubabba omwabadde David Asubu agamba nti yamusasula obukadde 900 ne Hajat Aziza eyamuwa obukadde 15. Okusobola okukwata obulungi omusango ggwe, files za Kayondo zasabiddwa Regional CID Kampala Metropolitan East neziva ku Kira Police Station nezidda ku Jinja Road Police Station.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Tubaagaliza ekisiibo ekirungi baganda baffe mwenna Abasiraamu