Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 348 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

poliisi ekutte omusajja eyeyita owa fumigation nabba ebintu mu mayumba

March 5, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi e Najjeera ekutte Buwembo Shemmy ku bigambibwa nti yeyita kyatali wamu n’okwenyigira mu bubbi bw’ebintu ebikozesebwa mu maka okuli Ppaasi, TV flat screens.

Ono akwatiddwa mu Bulabira Cell, Kira Municipality mu Disitulikiti y’e Wakiso oluvannyuma lw’omukozi wawaka Mirembe Robinah ne mukama we Kabuubi Viola nga batuuze be Bulabira nga bagamba nti Buwembo yazze ne form ya UMEME namugamba agende ateekeko units za Yaka era omukozi olwafulumye ono nayingira nasumulula TV, nakwata laptop wamu n’ensawo nabulawo.

Wabula oluvannyuma Poliisi ekutte Buwembo nga abadde atambulira mu motoka nnamba UAG 250K era nga kigambibwa nti abadde akozesa nnyo akakodyo kano okubba abakozi bawaka nga bakama baabwe tebaliiwo.