Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 258 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okutta mukyala we n’abaana

May 10, 2020 · Mubiru Ali

Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwekutte omusajja Mbago Yasin nga mutuuze w’e Banda B era nga abadde avuga Booda booda mu Kireka Farmer’s Market nga kigambibwa nti yatuze mukyala we Carol Nmaboozo 25, ne Batabani be okwabadde Musa 4, ne Shaban 7 oluvannyuma emirambo nagipakira mu buddeeya nabulawo.

Ono akwatiddwa mu Disitulikiti y’e Luuka era nga akuumirwa ku CPS y’e Luuka nga bwalindirira okuleetebwa ku Poliisi ya Jinja Road mu Kampala.