Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 139 listening Simba FM Live

Poliisi ekutte omukyala abadde akuba abasajja kalifoomu nabanyaga

November 2, 2022 · Mubiru Ali
Uganda Police Force e Kasangati ekutte omukyala Nakiyizi Lydia Asiimwe ngono olumu abadde yeyita Karungi Hope ngabadde agufudde muze okunyaga abasajja abadigize babadde ateera ebiragalalagala nga kalifoomu mu byokunywa.
Kigambibwa nti Asiimwe ng’ennaku z’omwezi 13-October, aliko omudigize amanyiddwa nga Creffin gweyasisinkana mu kifo ekisanyukirwamu ekimanyiddwa nga Afro Club e Kasangati n’amwekuleebesezaako ate nebaddamu okusisinkana mu Queens Palace e Mpereerwe ku lunaku lwe lumu ng’eno gyeyalungira kalifoomu mu mwenge gwe, Creffin nawunga olwo nakyala namunyagulula.