Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 285 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

poliisi ekutte omukazi abadde abba emotoka

February 5, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi y’e Kampalamukadde eyigga omukazi agambibwa okupangisa mmotoka okuva ku bannyinizo mu Kampala n’azitunda nga tebategedde.

Nadia Namakula omutuuze w’e Namugongo – Kyaliwajjala yanoonyezebwa Poliisi nga kigambibwa nti abaddenga apangisa mmotoka okuva ku bannannyinizo n’akozesa olukujjukujju n’azitunda nga tebamannyi.

Poliisi okutandika omuyigo guno kyaddiridde Namakula okuguza Christopher Kizza owa kkampuni ya CK Investment etunda mmotoka mu Kabakanjagala mmotoka ekika kya Spacio nnamba UBD 812S kyokka oluvannyuma ne kizuuka nti yabadde yapangisa mpangise n’agisingira Dimson Tadwa ku bukadde 5.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango bwe yatuukiriddwa yagambye nti batandise okunoonyereza ku Namakula era yaguddwaako omusango gw’okufuna ensimbi mu lukujjukujju oguli ku fayiro nnamba SD:53/31/01/2019.